Romans 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ab'engeri eyo tebaweereza Mukama waffe Kristu, wabula baweereza mbuto zaabwe, era balimbalimba ab'emitima emyangu n'ebigambo byabwe ebiweweevu ebisuutasuuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'engeri eyo si baweereza ba Kristo Mukama waffe, wabula baweereza ba mbuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi era eby'okuwaanawaana, ne balimbalimba emitima gy'abantu abatalina kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi.