Romans 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti obuwulize bwammwe bumanyiddwa bonna, bwe ntyo mbeenyumirizaamu; nandyagadde mubeere bagezi mu buli kirungi, abatakuusa awali ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga newakubadde obuwulize bwammwe bumanyiddwa bonna, ekindetera okubasanyukira mmwe; naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mw'ebyo ebirungi, naye abeewala ebyo ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wonna wonna abantu baawulira nga mmwe bwe muli abawulize eri Katonda, kyenva mbeera omusanyufu ku lwammwe. Njagala mubenga bagezi mu kukola ebirungi, naye nga temumanyi kukola bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi.