Romans 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mumwanirize mu Mukama nga bwe kisaanira abatuukirivu; mumuyambe mu byonna by'anaaba abeetaazeeko, kubanga naye yayamba bangi nga nange mw'ontwalidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga okuva gye muli, kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumwanirize ng'abantu ba Katonda bwe baaniriza, kubanga muntu wa Mukama waffe. Era mumuwe kyonna kye yeetaaga ng'ali nammwe, kubanga naye yennyini yayamba bangi, nga nange sibuzeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.