Romans 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gayiyo, asuza nze n'Ekleziya yenna, abatumidde. Erasto, omuwanika w'ekibuga, abatumidde, ko n'owooluganda Kwarito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gaayo ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaayo ansuza, era nga mu nnyumba ye mwe mukuŋŋaanira ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, abalamusizza. Erasto omuwanika w'ekibuga era ne muganda waffe Kwanto babalamusizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda.