Romans 16:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri oyo asobola okubafuula ab'amaanyi, olw'Evangili yange n'enjigiriza ya Yezu Kristu, olw'okubikkulibwa kw'ekyama ekyakisibwa okuva edda n'edda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyo ayinza okubanyweza ng'Enjiri n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,