Romans 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kati ekyoleseddwa ne kimanyisibwa, n'abalanzi kye baawandiika, olw'ekiragiro kya Katonda ataggwaawo, ekimanyisiddwa amawanga gonna, okugatuusa ku buwulize obuva mu kukkiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza;