Romans 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaawaayo ensingo zaabwe okuwonya obulamu bwange. Abo si nze nzekka abeebaza, naye n'Ekleziya zonna ez'omu mawanga zibeebaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abeewaayo okusalwako obulago okuwonya obulamu bwange. Abo si nze mbeebaza nzekka, wabula n'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo eby'abamawanga amalala bibeebaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga: