Romans 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mundabire n'Ekleziya akuŋŋaanira mu nnyumba zaabwe. Mundabire omwagalwa Epeneto, ekibala kya Aziya ekibereberye eri Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe. Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnamusize ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munnamusize n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu nnyumba yaabwe. Munnamusize mukwano gwange Epayineeto, eyali omubereberye mu Asiya okukkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.