Romans 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno, wattu ggwe buli muntu asala omusango, naawe tolina buwampanyizo, anti buli lw'osalira oli omusango, naawe oba ogwesalidde, manyanga ekyo ky'olamulamu oli naawe ky'okola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe omuntu, kyonna kyoli, bw'osalira omulala omusango; kubanga mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga; kuba bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale munnange ggwe asalira abalala omusango, ne bw'obeera ani, tolina kyakwewolereza. Mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga, kubanga bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyova olema okuba n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo.