Romans 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aboonoona nga tebalina tteeka balizikirira awatali tteeka; n'aboonoona nga balina Etteeka baliramulibwa Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balizikirizibwa nga tebavunaanibwa mateeka, ate bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu mateeka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna aboonoona nga tebamanyi Mateeka, balizikirizibwa nga tebavunaanibwa Mateeka. Ate bonna aboonoona nga bamanyi Amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu Mateeka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka;