Romans 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'amawanga abatalina Tteeka, mu buwangwa bwabwe bwe bakola ebyo eby'omu Tteeka, bo bennyini beebeerera etteeka, newandibadde nga tebalina Tteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu kutegeera okw'obuzaaliranwa bwabwe, ne batuukiriza ebyo amateeka bye galagira, abo, be baba bafuuse amateeka aga bafuga, newakubadde nga tebalina amateeka gali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amawanga amalala abatalina Mateeka bwe bakolera ku kutegeera kwabwe, ne batuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, be baba bafuuse amateeka agabafuga, newaakubadde nga tebalina Mateeka gali,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka: