Romans 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo booleka nti Etteeka kye lyagala kyawandiikibwa mu mitima gyabwe; emmeeme yaabwe ejulira wamu nabo; ebirowoozo byabwe bikubagana nga bibavunaana oba nga bibawolereza
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaga nti amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe gukikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga balaga nti Amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe. Kino n'eddoboozi ly'omutima gwabwe likikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka;