Romans 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti oli mugunjuzi w'ababuyabuya, omuyigiriza w'abato, alina mu Tteeka amagezi n'amazima,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi n’amazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi n’abaana abato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omulagirizi w'abatalina magezi, Omuyigiriza w'abaana abato, kubanga tulina mu mateeka, ebisibiddwamu eby'amagezi n'eby'amazima;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
aluŋŋamya abatalina magezi, era omuyigiriza w'abaana abato, kubanga mu Mateeka, mw'oggya byonna eby'amagezi n'eby'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omulagirizi w'abatalina magezi, omuyigiriza w'abaana abato ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka