Romans 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe agamba nti toyendanga, ate ggwe oyenda? Ggwe eyeenyinyala ebifaananyi bya balubaale, ate ggwe onyagulula ebiggwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga eby’omu masabo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agamba abalala obutayendanga, oyenda? Akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogamba abalala nti temwendanga, ate ggwe n'oyenda? Okyawa ebitali Katonda, ate n'obba eby'omu masabo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa