Romans 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oba otuukiriza Etteeka, olwo okutayirirwa kugasa; naye bw'oba olimenya, okutayirirwa kwo kufuuka obutatayirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okukomolebwa kugasa, bw'okwata amateeka; naye bw'oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kuba kufuuse obutakomolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukomolebwa kugasa bw'okwata Amateeka, naye bw'ojeemera Amateeka, oba ng'atali mukomole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa.