Romans 2:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli atuusa Etteeka, nandibadde mu mubiri gwe si mutayirire, agenda kukusalira omusango okukusinga ggwe alimenya sso ng'oli mutayirire, olirina ne mu buwandiike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, asobya amateeka, newakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu mateeka era nga wakomolebwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ataakomolebwa mu mubiri, kyokka n'atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, talikusalira omusango okukusinga ggwe omumenyi w'Amateeka, newaakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu Mateeka, era nga wakomolebwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, alikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennukuta n'okukomolebwa?