Romans 2:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula oyo Muyudaaya ddala aba Omuyudaaya munda, era okutayirirwa okwa nnamaddala kubeera kwa mu mutima na mu mwoyo, naye si mu nnukuta; ettendo lye teriva mu bantu, wabula mu Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n'okukomolebwa kwe okw'omu mutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Omuyudaaya ddala ye Muyudaaya munda, eyafuna okukomolebwa okw'amazima, okutali kwa kungulu ku mubiri, wabula okw'omu mutima. Omuntu ng'oyo tatendebwa bantu, wabula Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n’okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.