Romans 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale, wattu ggwe omuntu, asalira omusango abakola ebyo ate naawe ng'obikola, olowooza oliwona okulamulibwa Katonda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olowooza ggwe omuntu, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, so nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe munnange, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, ate nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda?