Romans 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba weeyibaala ekisa kya Katonda ekingi, obukwatampola bwe n'okugumiikiriza kwe? Tomanyi ng'ekisa kya Katonda kigenderera kukutuusa ku kweddamu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba ekisa kya Katonda ekingi n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, byonyoomye? Tomanyi nga ekisa kya Katonda weekiri olw'okukuleetera okwenenya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba, ekisa kya Katonda ekingi n'obukwatampola, n'okugumiikiriza kwe, by'ogaya? Tomanyi nga Katonda akukwatirwa ekisa olyoke weenenye?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?