Romans 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye abo abawalaza empaka, abatagondera mazima, wabula abagondera okukola obubi, ekibalindiridde busungu na bukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo abayomba, n'abatagondera mazima, naye bagoberera obutali butuukirivu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abo ab'empaka era abatagoberera mazima, ne bagoberera ekitali kituufu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe,