Romans 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku n'obulumi biriba mu buli mutima gwa muntu akola obubi: Omuyudaaya nga y'asooka, Omugereeki n'addako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walibaawo okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa, ku buli muntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna abakola ebibi balibonyaabonyezebwa ne balumizibwa, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akola obubi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani: