Romans 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tumanyi nga byonna Etteeka bye ligamba libigamba abo abakwatibwa Etteeka, buli mumwa gulyoke gubunire, ensi yonna eryoke ebalibwe bw'eri ensobya mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tumanyi nti byonna ebiri mu Mateeka bikwata ku abo abafugibwa Amateeka ago, waleme kubaawo yeewolereza, wabula ab'oku nsi bonna Katonda abasalire omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda: