Romans 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewali alifuuka mutuukirivu mu maaso ge olw'ebikolwa eby'omu Tteeka, kubanga okumanya ekibi kujja na Tteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge, kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso ge, tewali muntu n'omu alibalwa okuba omutuukirivu olw'okutuukiriza ebiri mu Mateeka. Amateeka kye gakola, kwe kumanyisa omuntu nti akoze kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.