Romans 3:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yagenderera ayoleke mu budde buno nti ye mutuufu era afuula oyo akkiriza Yezu Kristu n'aba omutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino, alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu buli akkiriza Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.