Romans 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale okwetenda kwaffe kuluwa? Ekyo kirekebwa na bbali. Lwa tteeka ki? Olw'ebyo bye twakola? Nedda, wabula lwa tteeka lya kukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Tekuuliwo. Lwaki tekuuliwo? Tekuuliwo olw'ebikolwa? Nedda, naye lwa kukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ekitwenyumirizisa kiki? Tekiriiwo. Lwaki tekiriiwo? Olw'ebyo bye tukola? Nedda, naye lwa kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza.