Romans 3:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yee, n'ab'amawanga Katonda waabwe, ndaba Katonda ye omu alifuula omutayirire omutuukirivu olw'okukkiriza n'atali mutayirire olw'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okuba Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Katonda ali omu, era abakomole alibawa obutuukirivu ng'asinziira ku kukkiriza kwabwe, n'abatali bakomole alibubawa olw'okukkiriza kwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.