Romans 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda ye k'abe w'amazima, ye buli muntu k'abe mulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Obeere mutuufu mu bigambo byo, osinge bwe bakuwozesa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bw’osala omusango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Obeere mutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Oba mutuufu mu bigambo byo. Bw'osalirwa omusango ggwe osinga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.