Romans 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba ffe obutaba batuukirivu kye kireetera Katonda okulaga obutuukirivu bwe, tunaagamba tutya? Nti Katonda si mutuufu okutulaga obusungu? - singa mbuuza ng'omuntu bwe yandibuuzizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda si mutuukirivu bw'atubonereza n'obusungu? Njogera ng'abantu bwe boogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga ffe okuba ababi kiragira ddala nga Katonda bw'asala omusango mu bwenkanya, tunaagamba tutya? Tugambe nti Katonda bw'atubonereza aba mubi? Njogera ng'abantu bwe boogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta obusungu? (Njogera mu buntu.)