Romans 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akatono! Ggwe ate Katonda yandiramudde atya ensi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda n'akatono! Kubanga, bwe kiba bwe kityo, Katonda alisalira atya ensi omusango?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda, tekisoboka. Katonda bw'ataba mwenkanya, ate olwo ayinza atya okulamula ensi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango?