Romans 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo lwaki tetukola bibi muveemu ebirungi – ng'abamu bwe batukonjera nti bwe tugamba. Abo nno gubasinga mu butuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti, “Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje?” Abo okusalirwa kwabwe omusango kwa nsonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era lwaki tetugamba–nga bwe batuwaayiriza era ng'ambamu bwe batulumiriza nti bwe tugamba–nti tukle ebibi mulyoke muveemu ebirungi? – ng'abamu bwe batuwaayiriza nti bwe tugamba. Abo basaanidde okusalirwa omusango okubasinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga.