Romans 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno kiki? Tubasinga? Nedda, n'akatono, anti navunaanye dda Abayudaaya n'Abagereeki nti bonna bali mu maanyi ga kibi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kiki? Ffe Abayudaaya tulina kyetusinza abalala? Nedda, n'akatono. Kubanga tusoose okulaga nti Abayudaaya era n'Abayonaani bonna bafugibwa kibi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale olwo ffe Abayudaaya tulina kye tusinza abalala? Nedda, tetukirina, nga bwe nasoose okulaga nti abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, bafugibwa kibi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi;