Romans 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abeere era kitaabwe w'abatayirire, naye si abo abatayirirwa kyokka, naye era abagoberera ebisinde eby'okukkiriza, okwo jjajjaffe Yiburayimu kwe yalina nga tannatayirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era ye jjajja w’abantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo ery’okukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ye jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ye jjajja w'abakomole, sso si ow'abo abakoma ku kukomolebwa obukomolebwa, naye ow'abo abagoberera obulamu obw'okukkiriza, jjajjaffe Aburahamu bwe yalina nga tannakomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.