Romans 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisuubizo Yiburayimu kye yasuubizibwa wamu n'ezzadde lye okusikira ensi, tekyamusuubizibwa lwa kubeera Tteeka, naye lwa kubeera butuukirivu obw'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'ezzadde lye baasuubizibwa okuweebwa ensi, si lwa kutuukiriza ebiri mu Mateeka g'Ekiyudaaya, wabula lwa butuukirivu obuva mu kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu abw'okukkiriza.