Romans 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusika kyekiva kisinziira ku kukkiriza, olwo ekisuubizo kiryoke kisinziire ku neema, kiweebwe ezzadde lye lyonna. Si abo bokka abagoberera Etteeka, naye era n'abo ab'okukkiriza ng'okwa Yiburayimu, anti ffenna ye kitaffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ebyo Katonda bye yasuubiza bisinzira mu kukkiriza, okusuubiza kulyoke kubeerenga kwa kisa, era kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ebyo Katonda bye yasuubiza byesigamye ku kukkiriza, biryoke birabikire ddala nti byava mu kisa kya Katonda okuweebwa ezzadde lya Aburahamu lyonna, sso si abo bokka abanywerera ku Mateeka, naye n'abo abalina okukkiriza nga Aburahamu kwe yalina, kubanga Aburahamu ye jjajjaffe ffenna;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna