Romans 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkufudde kitaawe w'amawanga amangi;” era bw'ali mu maaso ga Katonda gwe yakkiriza, oyo awa obulamu afudde, ebitaliiwo n'abiyita ne bibaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w'amawanga amangi,” mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkutaddewo obeere jjajja w'amawanga amangi.” Ekyo kyamusuubizibwa Katonda gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alagira ebitaliiwo ne bibaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.