Romans 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakkiriza ng'asuubira w'otandisuubiriridde nti alifuuka kitaawe w'amawanga amangi; nga bwe yali agambiddwa nti: “Ezzadde lyo bwe liriba lityo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu yakkiriza n'asuubira awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti, “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu yakkiriza n'asuubira, mu kifo ky'okuggwaamu essuubi. Kyeyava aba jjajja w'amawanga amangi, nga bwe yasuubizibwa nti: “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo.