Romans 4:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyaddirira mu kukkiriza ne bwe yamanya nti omubiri gwe gwali kyenkana ng'ogufudde, anti yali nga wa myaka kikumi egy'obukulu, era nti n'olubuto lwa Saara lwali lufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe nga gulinga ogufudde, kubanga yali awezezza emyaka nga kikumi (100), era nga ne Saala mugumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyaddirira mu kukkiriza, newaakubadde nga yali awezezza emyaka nga kikumi egy'obukulu, era ng'alaba nti omubiri gwe guli ng'ogufudde, nga ne Saara mugumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde: