Romans 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyabuusabuusa ku ebyo Katonda bye yamusuubiza, wabula yeeyongera bweyongezi maanyi mu kukkiriza, ng'assaamu Katonda ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza. Yeeyongera okufuna amaanyi mu kukkiriza kwe, n'agulumiza Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,