Romans 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Ekitabo ekitukuvu kigamba kitya? Kigamba nti: “Yiburayimu yakkiriza Katonda, ekyo ne kimubalirwa ng'obutuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.