Romans 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oyo atatuukiriza Tteeka naye ng'akkiriza oli, abo abatatya Katonda abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe kubalibwa ng'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka atakoze mulimu, wabula n'akkiriza bukkiriza Katonda atukuza aboonoonyi n'abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe Katonda kw'asinziirako okumufuula omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.