Romans 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwesiima okwo kwogerwa ku batayirire bokka oba ne ku batali batayirire? Tugamba nti okukkiriza kwabalirwa Yiburayimu ng'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ne ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omukisa ogwo gwa bakomole bokka, oba n'abatali bakomole nabo gwabwe? Tugamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.