Romans 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba twali tukyali balabe, ne tutabagana ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, alabisa kati nga tumaze okutabagana, tugenda kulokolebwa obulamu bwe bwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganyiziddwa tulirokoka olw'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba oba nga bwe twali nga tukyali balabe ba Katonda, twatabaganyizibwa naye olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganye naye, obulamu bw'Omwana we bujja kusingawo okutulokola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw'obulamu bwe;