Romans 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kye kyokka, n'okwetenda twetenda mu Katonda ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu, oyo mwe tufunidde okutabagana kwaffe kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era si ekyo kyokka, era naye tusanyukira mu Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana okwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era si ekyo kyokka, wabula twongerako n'okusanyukira mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atutuusizza kaakano ku kutabagana okwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana.