Romans 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ng'ekibi bwe kyayingira mu nsi muno nga kiyita mu muntu omu, n'okufa ne kujja nga kuyita mu kibi, okufa ne kubuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona…
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu, era n'okufa ne kuyingira olw'okwonoona, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu ne kireeta okufa, n'okufa bwe kutyo bwe kwabuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona: