Romans 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye okufa kwakajjala okuviira ddala ku Adamu okutuuka ku Musa, ne mu abo ebibi byabwe ebitaali kumenya tteeka ng'okusobya kwa Adamu eyali ekifaananyi ky'oyo eyali ow'okujja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okufa kwafuga abantu okuviira ddala ku Adamu, okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n'abo abataayonoona mu ngeri ya Adamu, eyajeemera ekiragiro kya Katonda. Adamu yali afaananako n'oyo eyali alindirirwa okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.