Romans 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekirabo tekigeranyizika ku nsobi; oba abantu enkuyanja baafa olw'okusobya kw'omuntu omu, eneema ya Katonda n'ekirabo byayitirira nnyo, olw'eneema y'omuntu omu Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekirabo eky'obuwa tekifaanana kwonoona. Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, kisinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo eky'obuwa mu kisa ky'omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna mu bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bombi si be bamu, kubanga ekirabo kya Katonda kisukkiridde nnyo okwonoona kw'omuntu. Kuba oba ng'okwonoona kw'omuntu omu kwaleetera abangi okufa, ekisa kya Katonda n'ekirabo kye, kye yaweera mu muntu omu Yesu Kristo, kyasinzaawo nnyo okubuna abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ng'okwonoona kuli bwe kwali, era n'ekirabo tekyali bwe kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, okusinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu oli omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna abangi.