Romans 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekirabo tekigeranyizika na kwonoona kw'omuntu omu. Kubanga okulamula okwaddirira okwonoona kw'omuntu omu kwamalira mu kumusinza musango, naye ekirabo ekyaddirira ensobi ennyingi kyaleeta butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekirabo eky'obuwa tekifaanana n'ekyava mu kwonoona kw'omuntu omu, kubanga omusango ogwava mu kibi ekimu kwaleeta okusingibwa omusango, naye ekirabo eky'obuwa ekiva mu kwonoona okungi kireeta okuggyibwako omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekirabo kya Katonda tekiri ng'okufa okwava mu kwonoona kw'omuntu omu oli. Ekibi kye ekimu, kyaleetera abantu okusingibwa omusango. Naye ebibi bingi bwe byakolebwa abantu, ne wabaawo ekirabo kye batasaanidde, eky'okubaggyisaako omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nga bwe kwajja ku bw'omu eyayonoona, ekirabo tekyali bwe kityo: kubanga omusango gwava ku omu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesa obutuukirivu.