Romans 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ng'ensobi y'omu bwe yaleetera abantu bonna okusalirwa omusango, bwe kityo era n'ekikolwa eky'omu eky'obutuukirivu bwe kyaleetera abantu bonna obutuukirivu obw'obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ng'okwonoona kw'omuntu omu bwe kwaleetera abantu bonna okusingibwa omusango, bwe kityo n'ekikolwa eky'obutuukirivu ekyakolebwa omuntu omu, kyaleetera abantu bonna okuggyibwako omusango n'okuweebwa obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu.