Romans 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ng'era olw'obutawulira bw'omuntu omu bangi bwe bafuuka aboonoonyi, bwe kityo era olw'obuwulize bw'omu bangi bwe balifuuka abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, ng'obujeemu bw'omuntu omu bwe bwaleetera abangi okuba aboonoonyi, bwe butyo n'obuwulize bw'omuntu omu, bulireetera bangi okuba abatuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafut ka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.

Recommended Reading