Romans 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye mwe twayita ne tutuuka ku neema eno gye tulimu, era twetendera mu ssuubi ery'okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ye mwe twayita okufuna ekisa kino kye tuyimiriddemu; era tusanyuka mu kusuubira kwe tulina okw'okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ye mwe twayita okutuuka ku kisa kya Katonda kye tulimu, era tusanyuka olw'okusuubira okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda.